Okukwatira NRM bendera, okunona empapula z’okusunsula kuzzeemu
Minisita ow'ebyensimbi Matiya Kasaijja kko ne minisita Ow'obutebenkevu Jim Muhwezi babuulidde abantu bebakiikirira nti singa babawa omukisa okuddamu okubakikirira mu Palamenti ekisanja ekijja, tebagenda kuddamu kubasaba mukisa mulala. Bano bebamu ku bannakibiina ki NRM enkuyanja abakedde ku kitebe ky'ekibiina kino e Kyadondo okujjayo empapula nga balaga obwetaavu bw'okuvuganya mu kamyufu k'ekibiina.Abakulira ekibiina kino bagamba nti obungi bw'abaagala okwetaba mu kamyufu kano bulaga obwagazi nobwesige abantu bwebakyalina mu kibiina kino.