Okulima kkooko: E Bundibugyo basagambiza, kilo kati egula 31000
Abalimi b'ekirime kya Kooko oba Cocoa mu district y'e Bundibugyo basambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw'ebbeeyi y'ekirime kino okulinnya mu ngeri eyewuunyisa.Ebbanga eriyise, Kilo ya Kooko ebadde egula wakati wa silingi 6000 n'akasanvu wabula yalinnye okutuuka ku 31,000/=.Kino kivudde ku bwetaavu bw'ekirime kino obweyongedde ku katale k'ensi yonna.