Okulwanyisa enjawukana mu diini, abazikulembera batandise okutema empenda
Abakulembeze b’e diini ez’enjawulo mu ggwanga batandise okutema empenda ezinaayitwamu okukomya enjawukana ezibadde zitandise okweyoleka mu bantu abawukanya enzikiriza. Bano bagamba nti omuze gw’abamu ku bakulembeze okuwanyisiganya ebigambo eby’obusaggwa gubadde gutandise, ekiyinza okuteeka eggwanga mu ntata akadde konna. Bano bagamba nti mu nkola eno baagala abantu batandike okweraba nga aboluganda nga tebatubuulidde bye bakkiririzamu.