OKULWANYISA SSIRIIMU: Ab’eby'obulamu baakubunyisa obukebera awatali mukugu
Minisitule y'ebyobulamu eyongedde amaanyi mu kaweefube waayo ow'okulwanyisa okusasaana kw'akawuka akaleeta mukenenya nga kati yakuyita mu kukubiriza abantu okwekebeza bokka akawuka kano nga tebaneesanyusa.Mu nteekateeka eno, abakulu mu ministry baliko obukebera akawuka kano obutetaagako mukugu buyite Self Test Kits bwebawereezza mu district 146.Tukitegedde nti mu nkola eno aba minsitry bagenderera okuyambako abantu abo abatya okugenda mu bifo bya lukale okwekebeza.