OKUSIMA AMAFUTA: Uganda esemberedde
Ministry y'amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo bakkiriziganya n'ekitongole ekiddukanya eby'amafuna ki Petroleum Authority of Uganda nti Uganda erabika wetuuse neetegefu okutandika okusima amafuta mu 2025.Bano bagamba nti kumpi buli ekyetagiisa mu ntekaateka eno kiwedde ng'ekibulayo ggwanga kutandika kwenogera nnusu.Abakulu bano nno bali mu bitundu by'e Hoima eyo, gye baliko abakungu okuva mu mawanga agavaamu kampuni ezikolagana ne Uganda mu kusima amafuta bebalambuza ebifo gye gali.