OKUTAASA SOUTH SUDAN: UPDF esindise amagye mu kibuga Juba
Amaggye ge ggwanga gakakasiza nga bwebaweerezza abajaasi mu South Sudan , okuyambako mu kukuuma e mirembe mu ggwanga lino. Ayogerera amagye Major General Felix Kulyigye agambye nti okugendayo kwabwe baayitiddwa gavumenti ya Juba okubayambaoko mu kaseera akakatyabaga ke balimu.Bino bijjidde mu kaseera nga pulezidenti we ggwanga lino President Salava Kiir Mayardit n’omumyuka we Riek Machar bali ku mbiranye ey’amaanyi eyinza n’okuvaako okuyiwa omusaayi.