OKWEMULUGUNYA KU TTEEKA LY’EBISIYAGA: Kkooti; Lyayisibwa mu butuufu
Kkooti etaputa amateeka egaanye okukiriziganya nabawagira ebisiyaga abaali basabye etteeka eryayisibwa palamenti lisazibwemu. Abalamuzi ba kkooti eno bataano awatali kwesalamu bakiriziganyizza nti etteeka eryayisibwa lyagendereramu kutaasa baana n’abantu abalala abasobola okukosebwa olw’ebikolwa byabasiyazi.