Olutindo lwa Karuma lugaddwa
Abaminisitule y'ebyenguudo bakakasizza nga olutindo lwa Karuma bwe luzzeemu okuggalwa okusobola okumaliriza emirimu gy'okuluddaabiriza egitanaggwa mu bbanga ely’emyeezi esatu gye lwamala nga luggale omwaka oguwedde.Okumaliriza emirimu egitanaggwa kwakumala sabiiti ssatu okusinziira ku mwogezi wa minisitule y'ebyenguudo Susan Kataike.Ono atubuulidde nti waliwo ebyuma bye baali baalagiriza ebyokunyweza olutindo luno ebyalwawo okutuuka nga kati bye baagala okwongera ku lutindo luno okusobola okuluggyirako ddala engalo.