OMUGGA KIRURUMA GUWAGGUZZA: Amazzi ganjadde mu ffaamu, enguudo n’amayumba
Okuwaguza kw'omugga Kiruruma ogusangibwa ku nsalo ya Uganda ne Rwanda kulese embeera eyonoonese mu bitundu bye ggombolola ye Kyanamira mu disitulikiti ye Kasese olw';amazzi okwanjaala . Faamu ssaako agamu ku mayumba g'abatuuze gali mu mazzi era nga n'entindo eziwera zitwaliddwa ekyongedde okukalubya ebyentambula mu kitundu.