Omulabirizi Lubowo alabudde abazadde ku by’okweraguza
Omulabirizi wa West Buganda Michael Lubowa alabudde abazadde okwewala endagu nga baagala abaana baabwe bayite bulungi ebigezi .Okwogera bino Lubowa abadde akulembedde okusaba mwawongeddeyo abayizi b'eggwanga ab'ekyomusanvu eri omutonzi nga beetegekera ebigezo ebyakamalirizo eby’omwaka guno .Okusaba kuno kuyindidde Mityana ku ssomero Lya Royal Primary School.