Omulamuzi omupya atandise okuwulira obujulizi mumusango gwa Katanga
Oluvannyuma lw'emyezi esatu, kkooti enkulu ezzeemu okuwulira omusango gw'okutemula omusubuuzi Henry Katanga alowoozebwa nti mu lukwe olwamuta, mukyala we ne muwala we baalimu. Omusango gugenze mu maaso n'omulamuzi omupya Rosette Comfort Kania era ng'olwaleero oludda oluwaabi luleese obujulizi bw'amasimu agaakubibwanga wakati w'abavunaanibwa. Omukugu mu bya digito mu poliisi y'eggwanga Enock Kanene y'abadde awa obujulizi ku bye yazuula mu masimu gano agamuweebwa okwekebejja.