Omusango gw’okutta Joan Kagezi, eyakkirizza omusango alumirizza banne
Kkooti ewozesa bakalintalo nga ekulemberwa omulamuzi Micheal Elubu leero esiibye ewulira bujjulizi bwa musajja Dannile Kissekka eyewaddeko obujjulizi nti y’omu ku basajja banna abeetaba mu kutta eyali omumyuka w’omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi mu mwaka 2015. Ono alumirizza munne Kibuuka John nti yebakunganya bonna okwetaba mu lukwe luno, songa era yeyamuwa namagezi okuduka mu maggye batandike ekibinja kyabanyazi n’abatemu .Omusango guddamu okuwulirwa enkya.