Owa Top TV eyakubiddwa aba JAT mu ali mu ddwaliro
Olunaku lw'eggulo mu kavuyo akaagoberedde okusunsulwa kwa munnakibiina ki NUP Erias Luyimbaazi Nalukoola ab'ebyokwerinda baliko abantu bebaatusizaako obulabe.Mu bano mwe mwabadde ne munnamawulire w'omukutu gwa Top TV Miracle Ibra, nga ono yakubiddwa nnyo ku mutwe.Akulira oluddda oluwabula gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi n'abakulira ebibiina ebirwanirira eddembe lya bannamawulire bamukyaliddeko mu ddwaliro e Nsambye gy'ajanjabirwa.