Poliisi ekutte 4 ku bya ssente z’emmwanyi ezabbibwa ku musuubuzi e Kyotera
Waliwo abantu bana abakwatiddwa e Kyotera ku byekuusa ku bukadde kikumi mu ataano ezabbibwa ku musuubuzi w’emmwanyi gyebuvuddeko .Polinaali Ssemanda owa Zaavuga Coffee Factory ye yabbibwako ensawo omwali ssente zino nga kyajje atuuke mu maka ge agasangibwa e Kaswa mu ggombolola ye Lwankoni .Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Twaha Kasirye agamba nti abakwatidda basangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli n’ebyambalo by’amagye .