Sam Omara ali ku ndiri lwa kookolo w’obusajja amuli bubi
Ab’oluganda lwa Sam Omara omusirikale eyakyaaka ennyo mu biseera bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya nga bakulemberwamu Dr. Kiiza Besigye bwe baategekera okwekalakaasa okwayitibwa walk to work, bali mu bweraliikirivu ku bulamu bw’omuntu waabwe oluvunnyuma lw’obulwadde okumunyiikirira mu ngeri eyewuunyisa.Mukiseera kino Afande Sam Omara ali muddwaliro ekkulu e Mulango gy’ajjjanjabirwa obulwadde bw’ensingo saako ne kookolo w’obusajja. Bano bategeezezza nti kati bali kattu olwa ssente okutandika okubeekubya empi.