Ssaabawaabi agamba fayilo za kkooti y’amagye zatuuka dda ewuwe
Tukitegedde nga Ssaabawaabi wa gavumenti bw'aliko fayiro zaafunye okuva mu kooti y'amagye ,nga kino kyekimu ku biragiro bya kkooti ensukkulumu eyajungulula obuyinza bwa kooti y'amagye ku kuwozesa abatali bannamagye. Bino abibuulidde ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akalondoola ensimbi z'omuwi w'omusolo gy'abadde ayitiddwa okubaako by'anyonyola ku byalabikira mu alipoota ya ssababalirizi w'e bitabo bya gavumenti.Kyoka ono agambye nti talina buyinza bwonna ku faayiro z’emisango eziri mu kkooti y’amagye kale nga balina kulinda okutuusa nga fayiro zino bazibaleetedde.