Ssenyonyi alambudde essunsuliro ly’emmwanyi okulondoola ssente z’eggwanga
Olwaleero akulira oludda oluvuganya gavument Joel Ssenyonyi alambudde e ekkolero li Inspire Africa gavumenti mwegenda okuteeka obuwumbi 75 okulongoosa emmwanyi y’eggwanga naddala nga ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority kyekiggye kigibwewo. Bano ssenyonyi ababuulidde nti kyakola si kutataaganya ntekateeka za gavumenti wabula okukakasa nga ensimbi y’omuwi w’omusolo temala gayonoonebwa.