Taata wa Ssemujju Nganda aziikiddwa, asiimiddwa olw’okukuza abaana mu mpisa
Olunaku olwaleero taata w’omubaka akikirira Kira Munisipaali Ssemujju Nganda ng’ono ye Hajji Ali Nganda aziikiddwa ku kyalo Kakuuto-Bijaaba mu gombolola ye Kyazanga Rural mu district ye Lwengo. Abakulembeze abenjawulo basinzidde eno okukolokota abakungu ba gavumenti olwa kyebayise okutaatira enguzi edobonkanyizza eggwanga. Hajji Ali Nganda afiiridde ku myaka 98.