Temutulugunya batabawagira - Omulabirizi Bukomeko alabudde bannabyabufuzi
Omulabilizi w’e Mityana James Bukomeko asabye abakulembera ebibina byobufuzi okwewala ebikolwa ebityobola n'okunyigiriza abantu abatabawagira. Ono agamba nti enkola eno eyinza okuvirako okutabangula emirembe mu ggwanga. Bukomeko okwogera bino abade ajaguzza okuweza emyaka etaano nga aweereza ng'omulabirizi wa Mityana.