TOTUULIRA KIROOTO KYO: Yiino emboozi ya juma kabenge
Emyaka 26 egiyise Abdul Kabenge ne mukyala we Amina Mwanana mukama Katonda yabawa ezadde ly'omwana omulenzi nabo gwebatuuma Juma Kabenge. Wabula ono yazalibwa n'emikono nga gyakitundu ekintu ekyatabula kitaawe namwegaana. Embeera ey'okuzaalibwa n'obulemu teyatangira Juma Kabenge kwezuula mu bitone ebyanjawulo Katonda byeyamuwa naddala mu kutyebula amazina n'okusamba omupiira. Sam Mpoza yasisinkanye Kabenge ono era katubulire byebanyumizza.