Waliwo abatandise okuyigiriza bannamagoye enviiri n’ebyalaani
Abantu ekika kya Nnamagoye beebamu kwabo abatafiibwako, newankubadde nga obulamu bwabwe bwa kwegendereza nnyo okukira ku bantu abalala. Bangi basoomyeko, naye okufuna e mirimu kizibu olw'okusosolwa , ekibaviiriddeko okulumwa obwavu. Kati waliwo bannakyewa aba Matayo Foundation abeewaddeyo okubabangula mu byemikono, naddala mu kutunga ebyalaani, okukola enviiri kko n'ebirara.