Waliwo omukazi akawatiddwa lwa kusibira baana mu nju
Ab’obuyinza ku kyalo Kazo Central Zone 1 mu gombolola ye Nansana, bakutte maama ow’abaana babiri, ng’alangibwa kubasibiranga mu nnyumba yye n’agenda okunywa omwenge. Abatuuze bagamba nti baludde nga balaba omukyala ono Sarah Nakibuule nga asibira abaanabe mu nnyumba ne basiiba njala, ekibawaliririzza okwekubira enduulu. Poliisi etubuulidde nti ono agenda kuggulwako gwa kubonyabonya baana.