ZUNGULULU : Abantu bawawula ebiwato nga balindirira omwaka omuggya
Sekukkulu olwawedde, abantu nebatandika okuwawula ebiwato nga balindirira omwaka omuggya. Kyokka nga bulijjo, tewabuzeeyo basowaagana ku lunaku lukulu, nga ne ba Landlady ababadde bagezaako okuganza abapangisa baabwe, kw'olwo lwe baakitegedde nti tebabagaala, era olusooka baakululiira wabweru.