Ababaka ba palamenti baagala ssaabawolereza wa gavt anyonnyole okuteebwa kwa Dr. Kiiza Besigye
Olwaleero ababaka ba palamenti naddala ab’oludda oluvuganya batadde ssaabawolereza wa gavumenti ku nninga a nyonnyole wa okuteebwa kwa Dr. Kiiza Besigye wekutuuse naddala mu kaseera kano nga embeera y’obulamu bwe si nnungi.
Bano bagamba nti newankubadde yatwalibwa mu kkooti enkulu nga bwekyali kisabibwa, kyokka ekigendererwa ky’okugendayo kyali kyanjawulo kwekyo kyebaali baagala.
Ssaabawolereza wa gav’t ategeezezza nga fayiro z’emisango gyonna bwezaweeredwayo ewa ssaabawaabi wa gav’t.