Atanansi Ssemuju alojja ejjoogo lya mukazi we, amufudde akagoma
Mu Kibwa - Nabweru North Cell mu gombolola y’e Nabweru mu town council y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso gyetusanze Atanansi Ssemuju alojja ejjoogo lya mukazi we, Annet Namubiru olw’okumufuula akagoma ka lubendera.
Mbu ono teyakoma okwo, yatwala n’abaana basatu n’abakukulira gy’atamanyi kati ebbanga kumpi lya mwaka mulamba, tabakubako kyamulubaale.
Omukazi mukwogerako naye, atubuulidde nga omusajja yavaako obuzibu era n’atutegeeza nga bweyali akooye okumuliisa akakanja.