Dr. Kizza Besigye alabiiseeko mu kkooti olunaku olwaleero
Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Winnie Nankya Jatiko, agobye okusaba kwa Dr. Kizza Besigye kweyasaayo nga ayagala aymbulwe okuva mu kkomera, nga agamba nti kkooti eno si yerina okusalawo ku nsonga eno.
Okusinziira ku mulamuzei, Besigye abadde yassaayo dda okusaba kw’ekumu mu kkooti enkulu, nga singa akola okusalawo kwe, kiyinza okukontana ne kkooti enkulu kyeyinza okusala.
Newankubadde omulamuzi akoze okusalawo kwe, Dr. Besigye talabiiseeko mu kkooti olunaku olwaleero nga bwekibadde kisuubirwa.