Obunkenke e Piida -Masaka : Waliwo ababasuulidde ebijambiya
Abatuuze ku kyalo Kayirikiti-Piida mu division ya Nyendo -Mukungwe balaajanidde eby'okwerinda mu kibuga Masaka okusitukiramu oluvannyuma lw'abantu abatannaba kutegeerekeka okubasuulira amajambiya amapya mu kitundu kyabwe.
Amajambiya gano gasuuliddwa okumpi n'amaka ga ssentebe w’ekyalo kino nga tebanamanya kigendererwa ky'abaakoze kikolwa kino.