Palamenti eyagala gav't enyonyole okuwambibwa kw'abantu ba NUP
Sipiika wa Palamenti alagidde amyuka ssabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi okuleta alipoota ku bantu omusanvu bannakibiina ki NUP ababuzidwawo.
Kino kidiridde akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi okusaba gavumenti ebabulira wa abantu baabwe gyebali.
Bbo ab’eng’anda z’abantu ababuziddwawo bakyagenda mu maaso n’okubanoonya buli wamu wadde nga poliisi yo egamba temanyi bantu bano gyebali nga nabo babiwulira buwulizi.