Poliisi ekutte abantu 4 lwa kutta bantu e Kiwatule
Poliisi eriko abantu 4 beekutte ku bubbi bw’emundu obakolebwa e Kiwatule mu ggombolola y’e Nakawa omwafiira abantu babiri abakubwa amasasi omwezi oguwedde.
Omu kubattibwa yali mukozi wa Mobile money ne munne owa boda boda eyali azze okutaasa.
Poliisi etegeezezza nga bwewaliwo abalala basatu abakyadduse bekyanoonya.