Ab'e Kawempe bemulugunyizza eri KCCA ne URA olw'omisolo
Abatuuze n’abasuubuzi mu Kawempe balaajanidde kitongole ekiwooza ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority [URA] ne KCCA olw’omusolo ogubabinikibwa omuyitirivu. Bagamba basoloozebwamu emisolo egyisoba mu mirundi 4 ate nga muyitirivu kyebagamba nti kisusse okubakosa. Bino bibadde mu musomo KCCA ne URA gwetegese okulambika abatuuze ebikwata ku misolo gyebalina okusasula.