Ab'e Makindye baguddemu enkyukwe bwebasanze mutuuze munnaabwe nga afudde
Abatuuze mu kibaati ekisangibwa mu zooni ya Sankala mu gombolola y’e Makindye baguddemu enkyukwe bwebasanze mutuuze munnaabwe nga afiiridde kumulyango gwa mulirwana. Atudde kigambibwa abadde bulooka wa nyumba mu kitundu kino, ekyamuviiriddeko okufa n’okutuusa kati kikyanoonyerezebwako.