Ab'e Rukiga b'ekokkola ba Money lender; beekolamu ekibiina mwebasondera n'okwewola ssente
Mu disitulikiti y’e Rukiga waliwo abakyala abeekolamu ekibiina eky’okwekulaakulanya mwebakunganyiza sente oluvanyuma zebeewola okusobola okubeerako byebatandikawo. Bagamba nti kino kyava ku bawozi ba nsimbi bayite ba money lenders abaabawolanga ssente ku magoba amangi nga n’abamu bafiirwa ebintu byabwe olw’okulemererwa okusasula.