Ab’eddwaliro ekkulu e Mbarara batongozza ekifo abalwadde endwadde enkambwe webalina okutuukira
Ab’eddwaliro lya Mbarara Regional Referral batongozza ekifo abalwadde webalina okutuukira ekigenda okutandika okukozesebwa naddala eri abantu abalumbiddwa endwadde enkambwe. Kino kivudde ku muwendo gw’abantu abakwatibwa ekirwadde kya Kawaali w’e Nkima oba Monkey Pox okweyongera.