Abatuuze e Mbarara banyiivu eri engeri kkooti enkulu gyekwatamu emisango gyabwe neba puliida
Abatuuze mu kibuga ky’e Mbarara banyiivu eri engeri kkooti enkulu gyekwatamu emisango gyabwe neba puliida. Bino bibadde mu nsisinkano y’abalamuzi ba kkooti enkulu n’abantu nga kwotadde n’ebitongole ebirala okuwulira endowooza zaabwe ku buweereza bwabwe mu kitundu kino kyoyinza okuyita Open Court. Mu nsisinkano eno era abatuuze balumirizza ekitongole ekiramuzi okwegumbulira omuze gw’okulya enguzi ekibalemesezza okufuna obwenkanya.