Banna FDC abaakwatibwa e Kenya: Ssemujju atadde Ssabawolereza ku nninga anyonnyole
Abakulembeze ba FDC mu Palamenti baagala gavumenti ennyonyole, butya bweyatuuka okusindika abakuuma ddembe mu ggwanga lya Kenya okukwata abavubuka abaali bagenze mu musomo gw’eby’obukulembeze mu ggwanga eryo.Bino byanjudde omwogezi wa FDC ey’oku Katonga RD Semuju Nganda mu lukiiko lw’eggwanga olukulu.Ono ssaabawolereza wa gav’t amwanukudde.