E MAYA BUGWE OW'EKKOLERO AMENYEDDWA : NEMA egamba baazimba mu lutobazi
NEMA emenye ekisenge ky’ekkolero li Taishan Interbnational Development Limited eyaba China kyebabadde bazimba mu lutobazi lwa Walumanyi ku kyalo Bujasi mu gombolola y’e Nsangi mu Wakiso.
Nema egamba aba china bano bagingirira ebiwandiiko ne bazimba nga tebakimanyiiko, kati waliwo babiri ku bannanyini Kampani eno abakwatiddwa.