Ebibiina byabalabirira abakadde byenyamivu n’okweyongera kw’okutyobolebwa kw’eddembe ly’abakadde
Ebibiina byabalabirira abakadde byenyamivu n’okweyongera kw’okutyobolebwa kw’eddembe ly’abakadde okweyongera nga bangi tebafuna kulabirirwa kwetaagisa mu bulamu bwabwe bwebatyo nebawangaalira mu mbeera ey’okunyigirizibwa. Bano bagamba ku muwendo gw’abakadde ogweyongera buli lukya, nga ate ab’enganda abandibalabiridde besuulirayo gwa Nnagamba wetaaga okubaawo ekikolebwa bunnambiro, okulaba nga gavumenti essa essira kukutendekebwa kw’abakugu abalabirira abakadde.