Eyaliko sipiika wa Buganda afudde, obwakabaka busiimye obuweereza bwe
Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gy'eyaliko omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya eyavudde mu bulamu bw'ensi kiro ekyakeesezza olwaleero. Kawalya ayogeddwako ng'eyali omusaale mu kulwanyisa endwadde mu Buganda mu kiseera weyaweerereza obwakabaka nga minisita w'ebyobulamu era nga yakola kinene okuleetawo obumu mu Lukiiko lwa Buganda mu kiseera ky'emyaka omusavu gyeyamala nga alukubiriza.