Gav't egumizza Bannakampala ku nguudo eziri mu mbeera embi
Gav’t ekakasizza bannakampala nti mu gw’omukaaga gw’omwaka ogujja enguudo eziwerako obuwanvu bwa kilometer 90 zijja kuba nga zikoleddwa. Ssaabaminisita Robinah Nabbanja okwogera bino abadde alambula okukola enguudo okugenda mu maaso mu Kampala. Alagidde bakontulakita okukola emisana n’ekiro okulaba nga kino kituukirira.