Joel Ssenyonyi asabye gav’t ennyonnyole ensimbi zeyateeka mu kkolero ly’emmanyi e Ntungamo
Akulira oluda oluvuganya gav’t mu palamenti Joel Ssenyonyi asabye gav’t enyonyole ensimbi zeyateeka mu kkolero ly’emmanyi erya Inspire Africa Coffee factory erisangibwa e Rwashamire mu disitulikiti y’e Ntugamo. Ono era ayagala gav’t egoberere emitendera emituufu bweba erina weeyagala okuteeka ensimbi zaayo.