Joel Ssenyonyi asisinkanye abalimi b’ebikajjo e Jinja
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Joel Ssenyonyi agamba abantu mu bitundu bya Busoga obwavu bakubukonga lusu ssinga ebeeyi y'ebikajo etereezebwa. Bino Ssenyonyi abyogeredde mu lukiiko lwabaddemu n'abalimi b’ebikajjo n’abalala abali mu mulimu guno ku kyalo Budumbula mu disitulikiti ye Jinja. Abalimi bategeezezza Ssenyonyi nga abamu ku bakulembeze baabwe bwebatabafuddeeko nga ebbeeyi y’ebikajjo egwa sso nga bamanyi bulungi nti mwebajja ekigulira magala eddiba.