KCCA ewadde bannayuganda ebbeetu okutundira ku nguudo mu kibuga Kampala
Ekitongole ki KCCA, kiwadde bannayuganda ebbeetu okutundira ku nguudo mu kibuga Kampala mu kaseera kano ak’ennaku enkulu, basobole okufuna ku kasente akawera. Wabula bakiriziddwa kukolera ku nguudo 2 zokka okuli olwa Luwum Street n’olw’ebigere olwa Namirembe road, okuva ku ssaawa 11 ez’olweggulo okutuusa ssaawa 12 ez’okumakya. KCCA egamba kino kyakukolwa okutuusa nga ennaku z’omwezi 5 January wa 2025. Kati bonna abatembeeyi abanaasangibwa nga batunda eby’amaguzi emisana ku nguudo baakukwatibwa.