Kyagulanyi agaaniddwa okukyala e Kitalya, abadde ayagala kulaba ku banna NUP abaasibwa
Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu alaze obunyikaavu olw’abakulira e kkomera ly’e Kitalya okumugaana okulaba ku basibe Bannakibiina ki NUP abaakwatibwa ne baggalirwa mu kkomera lino. Kyagulanyi agamba nti okugendayo amaze kukitegerako nti waliwo abatandise okuperereza abasibe bano bakkirize emisango bayimbulwe, kale nga abadde ayagala kubalaba abazeemu amanyi ekitasobose. Kyoka ayogerera amakomera Frank Baine agambye nti Kyagulanyi ne banne tebamaze kuwandiikira akulira amakomera nga eteeka bwerigamba.