Lukwago asabye gav't ssente z'okugula ettaka lya kasasiro
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago atadde gav’t ku nninga etuukirize obw'eyamo bwayo obw'okuwa ekitongole ki KCCA ensimbi obuwumbi 16 obw'okugula ettaka eRy'enkalakalira eryokuyiwako kasasiro. Okusinziira ku Lukwago, ssente zino zaakoma kwogerwako bwogezi nga n’egyebuli eno tebazirabangako. Loodi meeya okw'ogera bino abadde atongoza enteekateeka y’ennaku kkumi zawaddeyo okuyoola kasasiro yenna ajjudde mu kibuga, nga lwaleero batandikidde ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.