Maama asaba buyambi, atubidde n'omwana eyalwala ebitundu by'omunda (0781-255-283)
E Kireka mu munisipaali y’e Kira eriyo omukazi atubidde n’omwana okumala kati emyaka 6 oluvanyuma lw’okulumbibwa endwadde ez’enjawulo.
Ono atubuulide nga omwana bwebaamukebera nga ebitundu bye eby’omunda ebisinga byafuna obukosefu, omwana ono obulwadde bwamukwata wa myaka 5.
Kati ono asaba buyambi okusobola okujjanjaba omwana we asobole okuwona.