Minisita Babirye Babaranda ategeezezza nga omujjuzo mu makomera bwekukyali okusoomoozebwa
Minisita w’ensonga zobwa Pulezidenti Babirye Babaranda, ategeezezza nga omujjuzo mu makomera bwekukyali okusoomoozebwa okw’amaanyi, mu kutyoboola eddembe ly’obuntu n’okuziyiza enkulaakulana mu ggwanga. Agamba nti gavumenti esaanye esambyesambyeko mu kuzimba amakomera amalala, kko n’essiga eddamuzi okusala amagezi okukenddea ku muwendo gw’abantu gwesindika mu makomera. Ono abadde munsisinkano, n’ebitongole bya gavumenti eby’enjawulo ebirwanirira enfuga y’amateeka, enkulaakulana n’eby’okwerinda, nga beefumintiriza ku biki ebituukiddwako n’ebikyaganye mu nfuga eno.