Minisitule ye by’obulamu etubuulidde ng’omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya bwegukendedde
Minisitule ye by’obulamu etubuulidde ng’omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya bwegukendedde okuva ku bakyala 336 mu mwaka 2026, okutuuka ku bakyala 189 ku buli bakyala 100,000 abazaala.
Kyoka bagamba nti newankubadde guli gutyo abakyala abafa olwokuvaamu omusaayi omungi nga bazaala bbo bakyali bangi, nga kubuli bakyala 189 abafa nga bazaala,34 bafa lwa kugwamu musaayi.
Bino babibuulidde abbaka ba palamenti abatuuka ku kakiiko akakola ku by’obulamu bayambe mu kuperereza gavumenti eyongere ensimbi mu by’obulamu.