Minista Betty Amongi akyadde e Mengo neyeeyama okukwatagana n'obwakabaka ku by'obuwangwa
Obwakabaka bwa Buganda bweyamye okwongera okunyweza enkolagana ne gavumenti ya wakati okusitula embeera z’abantu mu by'enfuna n’obuwangwa.
Bwabadde asisinkanye minisita w’ekikula ky’abantu n’obuwangwa mu gavumenti eyawakati Betty Amongi ne minisita omubeezi owa Kampala e Bulange Mengo, eno bonna bakkiriziganyiza okukolera awamu okulaba nga batumbula eby’obuwangwa.