Obutonde bwe'nsi: Aba NGM batandise kaweefube w'okusimba emiti
Mukaweefube w'okutaatira n'okuzzaawo obutonde bw'ensi, aba Nation Media Group (NMG) Uganda batandiseewo kaweefube w'okusimba emiti mu masomero. Olwaleero bagabidde essomero li Mabombwe Church of Uganda primary school mu disitulikiti y'e Wakiso. Bagamba kikulu abaana bano okukula nga bamanyi obukulu bw'okukuuma obutonde bw'ensi.