Okukendeza akalippagano mu Kampala: KCCA ettukizza okusaanyawo enkulungo
KCCA ekyagenda mu maaso n’okusanyawo enkulungo mu Kampala nga zisikizibwa ebitaala okusobola okumalawo akalippagano k’ebidduka.
Ebitundu 27 okwetoloola ekibuga byebisuubirwa ekuteekebwako ebitaala nga n’enkulungo musanvu zezigenda okugyibwawo.
Mukiseera kino bano bali ku nkulungo y’okubbiri e Bwaise - Wano KCCA wesabidde abantu okuba abaguminkiriza okusobozesa enteekateeka eno okugenda mu maaso.